Ezra 8:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mutabani wa Sekaniya; mu bazzukulu ba Parosi, Zakariya, awamu naye abasajja abaawandiikibwa kikumi mu ataano;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
muzzukulu wa Sekaniya, n’okuva mu bazzukulu ba Palosi, Zekkaliya, era wamu naye abasajja abeewandiisa kikumi mu ataano (150);
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva ku batabani ba Sekaniya; okuva ku batabani ba Palosi, Zekkaliya; era wamu naye ne wabalibwa abasajja ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, kikumi mu ataano (150).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ku basibuka mu Sekaniya, mu lunyiriri lwa Parosi, Zekariya, eyawandiikibwa awamu n'abasajja kikumi mu ataano;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku batabani ba Sekaniya; ku batabani ba Palosi, Zekkaliya; era wamu naye ne wabalibwa ng'okuzaalibwa kw'abasajja bwe kwali, kikumi mu ataano.