Ezra 8:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwokuna ffeeza, zaabu n'ebintu ebitukuvu ne tubipima mu Kiggwa kya Katonda waffe; twabikwasa Meremoti mutabani wa Wuriya kabona, yali ne Eleyazari mutabani wa Finekasi; abaali nabo ye Yozabadi mutabani wa Yeswa ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi Omuleevi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ku lunaku olwokuna, nga tuli mu nnyumba ya Katonda waffe, ne tupima ffeeza ne zaabu n’ebintu ebyawongebwa ne tubikwasa Meremoosi kabona, mutabani wa Uliya, ne Eriyazaali mutabani wa Finekaasi eyali awamu naye, ne Yozabadi mutabani wa Yeswa, ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi, Abaleevi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olwokuna ne bapimira ffeeza ne zaabu n'ebintu mu nnyumba ya Katonda waffe, era ne tubikwasa mu mukono gwa Meremoosi mutabani wa Uliya kabona. Era awamu naye waaliwo Ereyazaali mutabani wa Finekaasi; era awamu nabo waaliwo Abaleevi: Yozabadi mutabani wa Yeswa, ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwokuna ne tugenda mu Ssinzizo, ne tupima ffeeza, ne zaabu n'ebintu ebikozesebwa, era ne tubikwasa kabona Meremooti, mutabani wa Wuriya. Baali wamu ne Eleyazaari mutabani wa Finehaasi n'Abaleevi babiri, Yozabadi mutabani wa Yeswa ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku olw'okuna ne bapimira ffeeza ne zaabu n'ebintu mu nnyumba ya Katonda waffe okubikwasa mu mukono gwa Meremoosi mutabani wa Uliya kabona; era wamu naye waaliwo Ereyazaali mutabani wa Finekaasi; era wamu nabo waaliwo Yozabadi mutabani wa Yeswa, ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi, Abaleevi;