Ezra 8:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli kintu kyabalibwa omuwendo gwakyo n'obuzito bwakyo; obuzito bwonna awamu ne buwandiikibwa ku olwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Byonna ne bibalibwa ng’omuwendo gwabyo bwe gwali n’obuzito bwabyo bwe bwali era ne biwandiikibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebintu byonna ng'omuwendo gwabyo era ng'obuzito bwabyo bwe byali; byabalibwa ne bipimibwa era byonna ne biwandiikibwa mu kiseera ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kintu ne kibalibwa era ne kipimibwa obuzito bwakyo, era byonna ne biwandiikibwa mu kiseera ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
byonna ng'omuwendo gwabyo era ng'obuzito bwabyo bwe byali; obuzito bwonna ne buwandiikibwa mu biro ebyo.