Ezra 8:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abawaŋŋangusibwa, abaali baakadda okuva mu busibe, ne baweereza Katonda wa Yisirayeli ebitambiro ebyokye: ente ennume kkumi na bbiri ku lwa Yisirayeli yenna, endiga ennume kyenda mu mukaaga, obuliga obulume nsanvu mu musanvu, embuzi ennume kkumi na bbiri ez'ekitambiro olw'ekibi. Byonna byaweerezebwa Omukama ng'ekitambiro ekyokye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo abaawaŋŋangusibwa, abakomawo okuva mu busibe, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda wa Isirayiri: ente ennume kkumi na bbiri ku lwa Isirayiri yenna, n’endiga ennume kyenda mu mukaaga, n’obuliga obuto nga bulume nsanvu mu musanvu, n’embuzi ennume kkumi na bbiri okuba ekiweebwayo olw’ekibi, ebyo byonna ne biba ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana b'obusibe abaakomawo ewaabwe nga bava mu buwaŋŋanguse ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda wa Isiraeri, ente kkumi na bbiri (12) olwa Isiraeri yenna, endiga ennume kyenda mu mukaaga (96), endiga ento nsanvu mu musanvu (77), embuzi ennume kkumi na bbiri (12) okuba ekiweebwayo olw'ekibi; ezo zonna ne ziba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasibe abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse, ne bawaayo eri Katonda wa Yisirayeli ebiweebwayo ebyokebwa. Ne bawaayo ente ennume kkumi na bbiri ku lwa Yisirayeli yonna, endiga ennume kyenda mu mukaaga, endiga ento nsanvu mu musanvu. Era ne bawaayo embuzi ennume kkumi na bbiri, nga kye kiweebwayo olw'ebibi. Ezo zonna ne ziba ekiweebwayo eri Mukama ekyokebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana b'obusibe abaakomawo ewaabwe gye baagoberwa ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda wa Isiraeri, ente kkumi na bbiri olwa Isiraeri yenna, endiga ennume kyenda mu mukaaga, abaana b'endiga nsanvu mu musanvu, embuzi ennume kkumi na bbiri okuba ekiweebwayo olw'ekibi: ezo zonna ne ziba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.