Ezra 8:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baatuusa n'ebiragiro bya kabaka eri abakungu be: abafuzi b'amatwale n'abaamasaza abafuga Emitala w'Omugga, bano ne bayamba abantu n'Ekiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era ne batuusa n’ebiragiro bya kabaka eri bagavana n’abaamasaza abaali emitala w’omugga Fulaati, abafuzi abo ne bayamba abantu ne bawaayo n’obuyambi eri ennyumba ya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bawa abaamasaza ebiragiro bya kabaka n'abo abafuga emitala w'omugga; abo ne bayamba abantu era n'ennyumba ya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne batwala ekiwandiiko kabaka kye yabawa, ne bakiwa abafuzi n'abakungu abali emitala w'omugga, abo ne bayamba abantu era n'Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bawa abaamasaza ebiragiro bya kabaka n'abo abafuga emitala w'omugga: ne bayamba abantu n'ennyumba ya Katonda.