Ezra 9:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma, abakulembeze bajja gye ndi nga bagamba nti: “Abantu ba Yisirayeli, nga mwe muli ne bakabona n'Abaleevi, balemeddwa okwewala abantu b'ensi n'empisa zaabwe ezeenyinyalwa: Abakanaani, Abakitti, Abaperizzi, Abayebusi, Abammoni, Abamowabu, Abamisiri n'Abaamori.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebintu ebyo okukolebwa, abakulembeze ne bajja gye ndi ne boogera nti, “Abantu ba Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona n’Abaleevi, tebeeyawudde ku mawanga agabaliraanye n’ebikolwa byabwe eby’emizizo. Tebeeyawudde ku Bakanani, ne ku Bakiiti ne ku Baperizi ne ku Bayebusi ne ku Bamoni ne ku Bamowaabu ne ku Bamisiri ne ku Bamoli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ebigambo ebyo bwe byaggwa okukolebwa, abakulu ne bansemberera nga boogera nti, “Abantu ba Isiraeri ne bakabona n'Abaleevi tebeeyawudde na mawanga ag'omu nsi nga bakola okugoberera emizizo gyabwe, egy'Abakanani, n'Abakiiti, n'Abaperizi, n'Abayebusi, n'Abamoni, n'Abamowaabu, n'Abamisiri, n'Abamoli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, abakulembeze ne bajja gye ndi, ne baŋŋamba nti: “Abayisirayeli ne bakabona n'Abaleevi tebeeyawudde ku bantu ba nsi ezitwetoolodde. Bakola eby'obugwagwa bye bimu ng'Abakanaani, n'Abahiiti, n'Abaperizi, n'Abayebusi, n'Abaamori, n'Abamowaabu, n'Abamisiri, n'Abammoni bye bakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ebigambo ebyo bwe byakolebwa, abakulu ne bansemberera nga boogera nti Abantu ba Isiraeri ne bakabona n'Abaleevi tebeeyawudde na mawanga ag'omu nsi nga bakola okugoberera emizizo gyabwe, egy'Abakanani n'Abakiiti n'Abaperizi n'Abayebusi n'Abamoni n'Abamowaabu n'Abamisiri n'Abamoli.