Ezra 9:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bye wawa ng'oyita mu baweereza bo abalanzi, ng'ogamba nti: ‘Ensi mmwe gye mugenda okuyingira efuuke eyammwe, nsi eyajaajaamizibwa obugwagwa bw'abantu baamu; olw'empisa zaabwe ezeenyinyalwa baagijjuza obugwagwa bwabwe okuva gy'eva okutuuka gy'ekoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ge watuwa ng’oyita mu baddu bo bannabbi, bwe wayogera nti, ‘Ensi gye mugenda okulya, nsi ejjudde obutali bulongoofu olw’abantu baamu, era bagijjuzizza ebikolwa eby’obugwagwa enjuuyi zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bye walagira ng'oyita mu baddu bo bannabbi ng'oyogera nti, ‘Ensi gye muyingiramu okugirya si nnongoofu olw'obutali bulongoofu bw'amawanga ag'omu nsi, olw'emizizo gyabwe, baagijjuzizza obugwagwa bwabwe eruuyi n'eruuyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bye watuwa ng'oyita mu baweereza bo abalanzi, ng'ogamba nti: ‘Ensi gye mugenda okuyingiramu efuuke yammwe, nnyonoonefu olw'eby'obugwagwa abantu baamu bye bakola, ebigijjuzizza obugwenyufu bwabwe enjuyi zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bye walagirira mu baddu bo bannabbi ng'oyogera nti Ensi gye muyingira okugirya nsi eteri nnongoofu olw'obutali bulongoofu bw'amawanga ag'omu nsi, olw'emizizo gyabwe, abaagijjuzizza obugwagwa bwabwe eruuyi n'eruuyi.