Ezra 9:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno bawala bammwe temubafumbizanga batabani baabwe, ne bawala baabwe temubawasizanga batabani bammwe. Temunoonyanga omulundi n'ogumu kubeera nabo mu ddembe, yadde okweyagalira mu mikisa gyabwe, lwe muliba ab'amaanyi ne mweliira ebirungi by'omu nsi eyo, ne mubirekera batabani bammwe ng'obusika obw'emirembe gyonna.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo temuwaayo bawala bammwe kufumbirwa batabani baabwe newaakubadde batabani bammwe okuwasa bawala baabwe. Temwongeranga ku bulungi bwabwe newaakubadde obugagga bwabwe, mulyoke mube n’amaanyi mulye ebirungi by’ensi, ate era mubirekere n’abaana bammwe okuba omugabo ogw’emirembe n’emirembe.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno temuwanga bawala bammwe batabani baabwe, so temuwasizanga batabani bammwe bawala baabwe, so temunoonyanga mirembe gyabwe newakubadde omukisa gwabwe emirembe gyonna, mulyoke mube n'amaanyi mulye ebirungi ebiri mu nsi, mugirekere abaana bammwe okuba obusika bwabwe emirembe gyonna.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo temuufumbizenga bawala bammwe mu batabani baabwe, era temuuwasizenga batabani bammwe bawala baabwe. Temuunoonyenga kuba mirembe nabo wadde okukulaakulana, mulyoke mubenga ba maanyi, era mulyenga ebirungi ebiri mu nsi eyo, mugirekere Ab'ezzadde lyammwe okuba obutaka bwabwe ennaku zonna.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno temuwanga bawala bammwe batabani baabwe, so temutwaliranga batabani bammwe bawala baabwe, so temunoonyanga mirembe gyabwe newakubadde omukisa gwabwe emirembe gyonna: mulyoke mube n'amaanyi mulye obulungi bw'ensi, mugirekere abaana bammwe okuba obusika emirembe gyonna.