Ezra 9:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bino byonna byatutuukako olw'ebikolwa byaffe ebibi, n'olw'omusango gwaffe omunene; naye ggwe, Katonda waffe, watubonereza kitono okugerera ku bibi byaffe kye byali bigwanira, n'otuleka ne tusigalawo, nga bwe tuli kaakati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bino byonna bitutuuseeko olw’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu n’olw’omusango omunene gwe tulina, ate nga Katonda waffe totubonerezza ng’ebikolwa byaffe bwe biri, naye otuleseewo nga bwe tuli kaakano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ebyo byonna nga bimaze okututuukako olw'ebikolwa byaffe ebibi n'olw'okuzza omusango omunene, kubanga ggwe, Katonda waffe, watubonerezaako katono so si ng'obutali butuukirivu bwaffe bwe bwatusaanyiza, n'otuwa ekitundu ekyenkana awo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ebyo byonna nga bimaze okututuukako olw'ebikolwa byaffe ebibi n'olw'okuzza omusango omunene, tumanyi nga ggwe Katonda waffe, watuwa ekibonerezo kitono okusinga kye twali tusaanidde olw'ebyonoono byaffe, n'otulekawo abawonyeewo abenkana bwe tuti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebyo byonna nga bimaze okututuukako olw'ebikolwa byaffe ebibi n'olw'okuzza omusango omunene, kubanga ggwe, Katonda waffe, watubonerezaako katono so si ng'obutali butuukirivu bwaffe bwe bwasaanira, n'otuwa ekitundu ekyenkana awo,