Ezra 9:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era tunaddamu okumenya ebiragiro byo, ne tuwasaŋŋana n'abantu bano ab'empisa ezeenyinyalwa? Olwo tolisinzaawo okutusunguwalira, n'otusaanyaawo nga toleseewo n'asigalawo, kaawonawo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tunaayinza nate okumenya ebiragiro byo ne tuwasa mu mawanga ago agakola ebitasaana? Tolitunyiigira nnyo n’okusingawo n’otuzikiriza obutalekaawo muntu yenna?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale tuyinza tutya okuddamu okusobya amateeka go ne tuba bakoddomi b'amawanga agakola eby'emizizo? Tewanditusunguwalidde okutuusa lwe wandituzikirizza, obutabaawo kitundu ekifisseewo newakubadde ow'okuwona?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale tuyinza tutya okuddamu okumenya ebiragiro byo ne tufumbiriganwa n'abantu abakola eby'obugwagwa? Singa tukikola, ojja kunyiiga otuzikirize, waleme kusigalawo n'omu awonawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
tulisobya nate amateeka go ne tuba bakoddomi b'amawanga agakola eby'emizizo? tewanditusunguwalidde okutuusa lwe wandituzikirizza, obutabaawo kitundu ekifisseewo newakubadde ow'okuwona?