Ezra 9:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, oli mutuukirivu, kubanga tusigaddewo nga bakaawonawo nga bwe kiri olwa leero. Tuutuno, tuli mu maaso go n'emisango gyaffe; olw'okubeera gyo tetuguma na kuyimirira mu maaso go.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri oli mutuukirivu, era otuleseewo ffe ekitundu kino leero. Laba tuli mu maaso go nga tuzzizza omusango, newaakubadde nga tewali eyandisobodde okuyimirira mu maaso go.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, ggwe mutuukirivu; kubanga ffe tusigadde ekitundu ekifisseewo ekiwonye nga bwe kiri leero. Laba, tuli mu maaso go nga tuzzizza omusango; kubanga tewali ayinza okuyimirira mu maaso go olw'omusango ogwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, oli mutuukirivu, kubanga tusigaddewo nga ffe batono abawonyeewo n'okutuusa kati. Tuutuno mu maaso go nga tuzzizza omusango olw'ebibi byaffe. Tetusaanidde kuyimirira mu maaso go olw'omusango ogwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, ggwe mutuukirivu; kubanga ffe tusigadde ekitundu ekifisseewo ekiwonye nga bwe kiri leero: laba, tuli mu maaso go nga tuzzizza omusango; kubanga tewali ayinza okuyimirira mu maaso go olw'ekyo.