Ezra 9:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bawasizza abamu ku bawala baabwe ne babawasiza ne batabani baabwe, ne batabika olulyo olutukuvu n'abantu b'ensi zino. Abakulembeze n'abakungu be bakulembedde mu kusobya kuno.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bawasizza abamu ku bawala baabwe, n’abawala ne bafumbirwa abamu ku batabani baabwe, bwe kityo eggwanga ettukuvu ne lyetabula n’amawanga agabeetoolodde. Ku nsonga eyo abakulembeze n’abakungu, be basinze okwonoona.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga beewasiriza ku bawala baabwe, ne batabani baabwe babawasiriza abakazi ab'amawanga amalala; bwe kityo ezzadde ettukuvu ne lyetabula n'amawanga ag'omu nsi. Weewaawo, omukono gw'abakulu n'abafuga gwe gusinze okwonoona bwe gutyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bawasa abakazi ab'amawanga amalala, bwe batyo abantu ba Katonda abatukuvu ne boonooneka. Abaami n'abakungu, be basinze okwonooneka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga beewasirizza ku bawala baabwe, ne batabani baabwe babawasirizzaako; bwe kityo ezzadde ettukuvu ne lyetabula n'amawanga ag'omu nsi: weewaawo, omukono gw'abakulu n'abafuga gwe gusinze okwonoona bwe gutyo.