Ezra 9:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nawulira ekigambo ekyo, ne njuza ekkanzu yange n'omunagiro gwange, ne nkuunyuula ekirevu kyange n'enviiri ku mutwe gwange, ne ntuula awo nga mpuniikiridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe nawulira ebigambo ebyo, ne njuza ekkanzu yange n’omunagiro gwange, ne nkunyuula enviiri ku mutwe gwange ne mu kirevu kyange ne ntuula wansi nga nnakuwadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe nnawulira ekigambo ekyo, ne njuza ekyambalo kyange n'omunagiro gwange, ne nkuunyuula enviiri ez'oku mutwe gwange n'ekirevu kyange, ne ntuula nga nsamaliridde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe nawulira ekigambo ekyo, ne njuza ekyambalo kyange n'omunagiro gwange olw'okunakuwala, ne nkuunyuula enviiri zange n'ekirevu kyange, ne ntuula, nga nsobeddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe nnawulira ekigambo ekyo, ne njuza ekyambalo kyange n'omunagiro gwange, ne nkuunyuula enviiri ez'oku mutwe gwange n'ez'omu kirevu kyange, ne ntuula nga nsamaaliridde.