Ezra 9:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna abatya olw'ebigambo bya Katonda wa Yisirayeli ne bakuŋŋaanira we ndi olw'okusobya kw'ababadde mu buwaŋŋanguse. Natuula awo nga mpuniikiridde okutuusa ku kitambiro eky'akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bonna abatya ebigambo bya Katonda wa Isirayiri ne bakuŋŋaanira we ndi, olw’obutali bwesigwa obw’abaawaŋŋangusibwa. Ne ntuula wansi nga nnakuwadde okutuusa ekiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi bwe kyatuuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne wakuŋŋaanira gye ndi bonna abaakankanira ebigambo Katonda wa Isiraeri bye yayogera olw'okusobya kw'abo ab'obusibe, ne ntuula nga nsamaaliridde ne ntuusa ekitone eky'akawungeezi we kiweerwayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abo bonna abaatya olw'ebigambo Katonda wa Yisirayeli bye yayogera ku bibi by'abo abaava mu buwaŋŋanguse, ne bakuŋŋaanira we nali ntudde nga ntokooteredde okutuusa mu kiseera eky'okuwaayo ekiweebwayo eky'akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne wakuŋŋaanira gye ndi bonna abaakankanira ebigambo bya Katonda wa Isiraeri olw'okusobya ku abo ab'obusibe; ne ntuula nga nsamaaliridde ne ntuusa ekitone eky'akawungeezi.