Ezra 9:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kutambira okw'akawungeezi nasituka ne nva mu buyinike bwange; mu kkanzu yange n'omunagiro gwange ebiyulifu, ne nfukamira ku maviivi gange, ne ngololera emikono gyange Omukama Katonda wange,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu kiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi ne ngolokoka okuva we nnali ntudde, n’ekkanzu yange enjulifu n’omunagiro gwange omuyulifu, ne nfukamira ne ngolola emikono gyange eri Mukama Katonda wange,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekitone eky'akawungeezi bwe kyaweebwayo, ne nsituka ne nva mu kutoowazibwa kwange, ekyambalo kyange n'omunagiro gwange nga biyulise; ne nfukamira ku maviivi gange ne nnyanjuluza engalo zange eri Mukama Katonda wange;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mu kiseera eky'ekitambiro eky'akawungeezi ne ngolokoka, ne nva we nali nkungubagira nga nnyambadde ekyambalo kyange n'omunagiro gwange ebiyulifu, ne nfukamira, ne mpanika emikono gyange eri Mukama Katonda wange,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekitone eky'akawungeezi bwe kyaweebwayo ne ngolokoka ne nva mu kutoowazibwa kwange, ekyambalo kyange n'omunagiro gwange nga biyulise; ne nfukamira ku maviivi gange ne nnyanjuluza engalo zange eri Mukama Katonda wange;