Ezra 9:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne neegayirira nti: “Ayi Katonda wange, nswadde, n'ensonyi zinkwata okukusitulira amaaso gange, kubanga ebyonoono byaffe byetuumye ne bisukka n'emitwe gyaffe, n'omusango gwaffe munene gukwata eyo ku ggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne nsaba nti: “Ayi Katonda wange, nkwatiddwa ensonyi, era sisobola kuyimusa maaso gange eri gwe Katonda wange, kubanga obutali butuukirivu bwaffe busukiridde emitwe gyaffe, n’omusango gwaffe gutuuse mu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne njogera nti, “Ayi Katonda wange, nkwatiddwa ensonyi, amaaso gange ne gamyuka okuyimusa amaaso gange gy'oli, Katonda wange, kubanga obutali butuukirivu bwaffe bweyongedde ne busukka emitwe gyaffe, n'omusango gwaffe gugulumidde okutuuka mu ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ŋŋamba nti: “Ayi Katonda wange, nkwatiddwa ensonyi nnyingi okuyimusa amaaso gange gy'oli, ayi Katonda wange. Ebyonoono byaffe byetuumye ne bisukka emitwe gyaffe, n'emisango gyaffe gyetuumye okutuuka ku ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne njogera nti Ai Katonda wange, nkwatiddwa ensonyi, amaaso gange ne gamyuka okuyimusa amaaso gange gy'oli, Katonda wange: kubanga obutali butuukirivu bwaffe bweyongedde okukira omutwe gwaffe, n'omusango gwaffe gukuze gutuuse mu ggulu.