Ezra 9:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva mu budde bwa bajjajjaffe n'okutuusa ku lunaku lwa leero, omusango gwaffe gubadde munene. Olw'okubeera ebibi byaffe kyetwava tuweebwayo, ffe, bakabaka baffe ne bakabona baffe, mu mikono gya bakabaka b'ensi endala n'eri ekitala, mu busibe, mu kunyagibwa ne mu kuswala nga ne bwe kiri kati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva mu biro bya bajjajjaffe n’okutuusa leero, omusango gugenze gweyongera; era olw’obutali butuukirivu bwaffe, bakabaka baffe, ne bakabona baffe baweereddwayo mu mukono gwa bakabaka ab’ensi, n’eri ekitala, n’eri obusibe, n’eri obunyazi, n’eri obuswavu obungi, nga bwe kiri mu nnaku zino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva ku nnaku za bajjajjaffe n'okutuusa leero tuzizza omusango munene nnyo; era olw'obutali butuukirivu bwaffe kyetwava tugabulwa, ffe, bakabaka baffe ne bakabona baffe, mu mukono gwa bakabaka b'ensi abalala, era neri ekitala, ne tutwalibwa nga tuli basibe, ne tunyagibwa era n'amaaso gaffe okukwatibwa ensonyi nga leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva mu biseera bya bajjajjaffe n'okutuusa kati, tuzizza emisango minene. Era olw'ebibi byaffe ebyo, bakabaka baffe ne bakabona baffe, naffe, kyetuvudde tugwa mu mikono gya bakabaka b'amawanga amalala, era tubadde tuttibwa mu ntalo, ne tunyagibwa ne tutwalibwa nga tuli basibe, ne tuswala nnyo nga bwe tuli kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuva ku nnaku za bajjajjaffe nga tuzza musango munene nnyo ne leero; era olw'obutali butuukirivu bwaffe kyetwava tugabulwa, ffe, bakabaka baffe ne bakabona baffe, mu mukono gwa bakabaka b'ensi, eri ekitala, eri obusibe n'eri okunyagibwa n'amaaso gaffe okukwatibwa ensonyi nga leero.