Ezra 9:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuuno kati mu kabanga kano ekisa tukisanze ew'Omukama Katonda waffe, n'atulekerawo abaasigalawo, n'atuteerawo ekisulo ekinywevu mu kifo kye ekitukuvu, bw'atyo Katonda waffe n'amulisa amaaso gaffe, n'atuwa akalembereza mu buddu bwaffe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye kaakano, akaseera katono, Mukama Katonda waffe atulaze ekisa n’atulekawo ffe abatono, n’atuwa ekifo ekisooka era ekinywevu mu watukuvu we, Katonda waffe n’amulisa amaaso gaffe, n’atuwa okuweeraweerako akatono mu busibe bwaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne kaakano akaseera katono ekisa kiragiddwa ekiva eri Mukama Katonda waffe, okutulekera ekitundu eky'okuwona n'okutuwa enninga mu kifo ekitukuvu, Katonda waffe ayakire amaaso gaffe n'okutuwa okuweeraweerako akatono mu busibe bwaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka mu nnaku entono zino, Mukama Katonda waffe atukwatiddwa ekisa, n'atutalizaawo ffe abamu, n'atuwa okuba abanywevu mu kifo kino ekitukuvu, Katonda waffe alyoke atuzzeemu amaanyi, era atuwe okuweeraweerako mu busibe bwaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kaakano akaseera katono ekisa kiragiddwa ekiva eri Mukama Katonda waffe, okutulekera ekitundu eky'okuwona n'okutuwa enninga mu kifo kye ekitukuvu, Katonda waffe ayakire amaaso gaffe n'okutuwa okuweeraweerako akatono mu busibe bwaffe.