Galatians 1:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti mwawulira edda bwe neeyisanga nga ndi mu Kiyudaaya; nga bwe nayigganya Ekleziya wa Katonda ne mpitiriza, ne ngezaako okumuzikiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mumanyi nga bwe nnali nfaanana nga nkyagoberera eddiini y’Ekiyudaaya, nga bwe nayigganyanga ennyo Ekkanisa ya Katonda okugizikiza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mwawulira nga bwe nnali edda mu ddiini y'Ekiyudaaya, nga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda nga ngezaako okugizikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwawulira nga bwe nabeeranga, nga nkyagoberera eddiini y'Ekiyudaaya, era mwawulira nga bwe nayigganyanga ennyo ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo, nga ngezaako okukizikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mwawulira bwe nnabanga edda mu mpisa z'Ekiyudaaya, nga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda awatali kigera ne nginyaga,