Galatians 1:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Neeyongera okukuguka mu Kiyudaaya ne nkubira wala bannange ab'eggwanga lyange bwe twaliwo mu budde obwo, nga ndi muyitirivu mu kutakabanira empisa za bajjajjange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era nga nnali omu ku bannaddiini abaakulaakulana mu ggwanga lyange, ne nsukkuluma ku Bayudaaya bannange be nakula nabo, era nagezaako nnyo nga bwe nasobola okugoberera empisa zonna ez’edda ez’amateeka g’eddiini yange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne mpitirizanga mu ddiini y'Ekiyudaaya okusinga bangi bwe twakula mu ggwanga lyaffe, nga mbakiranga okubeera n'obuggya obungi ennyo mu mpisa ze nnaweebwa bajjajjange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nasinga nnyo Bayudaaya bannange bwe twakula, ne mbasukkirira mu kujjumbira obulombolombo bwa bajjajjaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne mpitirizanga mu mpisa z'Ekiyudaaya okusinga bangi bwe twakula mu ggwanga lyaffe, nga mbakiranga okubeera n'obuggya obungi ennyo mu mpisa ze nnaweebwa bajjajjange.