Galatians 1:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era n'e Yeruzaalemu saayambukayo eri abo abansooka okuba abatume; nagenda bugenzi mu Arabiya, ate ne nkomawo e Damasiko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
newaakubadde okwambuka e Yerusaalemi okwebuuza ku batume, naye nagenda mu Buwalabu era oluvannyuma ne nkomawo e Damasiko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
so ssaayambuka Yerusaalemi eri abo abansooka okubeera abatume, naye n'agenda mu Buwalabu, oluvannyuma ne nkomawo mu Ddamasiko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
wadde okwambuka e Yerusaalemu eri abo abansooka okuba abatume, wabula nagenda mu Buwarabu, oluvannyuma ne nkomawo e Damasiko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so ssaayambuka Yerusaalemi eri abo abansooka okubeera abatume: naye nagenda mu Buwalabu, ne nkomawo nate mu Ddamasiko.