Galatians 1:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali bawuliddeko buwulizi nti: “Olumu eyali atuyigganya, ate kati y'ayigiriza okukkiriza kwe yali ayagala okuzikiriza;”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nga bamanyi nti, “Eyatuyigganyanga, kaakano abuulira okukkiriza kwe yagezaako okuzikiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye ne bawuliranga buwulizi nti, “Eyatuyigganyanga edda kaakano abuulira okukkiriza kwe yagezaako okuzikiriza,”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
wabula baawuliranga buwulizi, nti oyo eyatuyigganyanga edda, kaakano ategeeza abantu bakkirize ekyo kye yagezangako okuzikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ne bawuliranga buwulizi nti Eyatuyigganyanga edda kaakano abuulira okukkiriza kwe yanyaganga edda.