Galatians 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Neewuunyizza okulaba nga mwabulidde mangu mutyo oli eyabayita mu neema ya Kristu, ate ne mudda eri evangili endala;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mbeewuunya kubanga mukyuka mangu okuva ku oyo, eyabayita olw’ekisa kya Kristo, naye ne mukyuka mangu okugoberera Enjiri endala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nneewuunya kubanga muvudde mangu ku oyo, eyabayita mu kisa kya Kristo okugoberera enjiri endala,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mbeewuunya mmwe! Mu kaseera kano akatono, muvudde ku oyo eyabayita olw'ekisa kya Kristo, ne muwuliriza Amawulire Amalungi amalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nneewuunya kubanga musenguka mangu bwe muti eyabayita mu kisa kya Kristo okugenda eri enjiri efaanana obulala;