Galatians 1:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
si kwe kugamba nti waliyo evangili endala, wabula waliwo abamu ababatabula, abaagala okwonoona Evangili ya Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga tewali njiri ndala, wabula mwawubisibwa abaagala okunyoola n’okukyusa Enjiri ya Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
si kuba nti waliwo enjiri endala, wabula mwatawanyizibwa abantu abamu, abaagala okukyusiza ddala Enjiri ya Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu butuufu, tewali Mawulire Malungi malala, wabula waliwo abantu abamu ababatawaanya, nga bagezaako okukyamya Amawulire Amalungi aga Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
si ndala, wabula abantu ababateganya, abaagala okukyusiza ddala enjiri ya Kristo.