Galatians 1:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bwe yandibadde ffe oba malayika avudde mu ggulu, singa abayigiriza evangili endala eyawukanye ku eyo gye twabayigiriza, avumirirwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna, ne bwe tuba ffe, wadde malayika ava mu ggulu, bw’abuuliranga Enjiri okuggyako gye twababuulira, akolimirwenga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oba nga ffe oba malayika ava mu ggulu bw'abuuliranga enjiri okuggyako gye twababuulira, akolimirwenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ne bwe tuba ffe, oba malayika avudde mu ggulu, n'abategeeza Amawulire Amalungi amaawufu ku ago ge twabategeeza, avumirirwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oba nga ffe oba malayika ava mu ggulu bw'abuuliranga enjiri wabula nga bwe twababuulira, akolimirwenga.