Galatians 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bwe twagamba olulala, era bwe nziramu okugamba, nti oba waliwo abayigiriza evangili eyawukanye ku eyo gye mwafuna, avumirirwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo nziramu okukyogera nti, omuntu yenna bw’ababuulira Enjiri eteri eyo ggye mwakkiriza akolimirwenga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo ne kaakano nkiddamu nti, Omuntu bw'ababuuliranga enjiri eteri eyo ggye mwakkiriza, akolimirwenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bwe twayogera okusooka, era ne kaakano nkiddamu nti: bwe wabangawo abategeeza Amawulire Amalungi amaawufu ku ago ge twabategeeza, avumirirwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo bwe njogera kaakano nate nti Omuntu bw'ababuuliranga enjiri wabula nga bwe mwaweebwa, akolimirwenga.