Galatians 2:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma lw'emyaka kkumi n'ena, naddamu okwambuka e Yeruzaalemu, wamu ne Barunaba, nga ntutte ne Tito.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waayitawo emyaka kkumi n’ena ne nzirayo ne Balunabba ne Tito e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nga wayiseewo emyaka kkumi n'ena (14) n'ayambuka nate e Yerusaalemi wamu ne Balunabba nga ntutte ne Tito.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluvannyuma nga wayiseewo emyaka kkumi n'ena, nayambuka nate e Yerusaalemu, wamu ne Barunaba, nga ntutte ne Tito.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma, emyaka bwe gyayitawo kkumi n'ena, nalinnya e Yerusaalemi wamu ne Balunabba ne ntwala ne Tito.