Galatians 2:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula baatusaba okujjukiranga abaavu, ekintu nange kye nali njagala okukola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kye baatusaba kyokka tujjukirenga abaavu, ate ng’ekyo kye nnali nesunga okukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kyokka, baatusaba tujjukirenga abaavu; ekyo kye nnyini kye nesunga okukola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula baatusaba tujjukirenga abantu baabwe abaavu, era ekyo nanyiikira nnyo okukikola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kyokka, tujjukirenga abaavu; ekyo n'okunyiikira kye nnanyiikirira ennyo okukikolanga.