Galatians 2:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamu abaava ewa Yakobo bwe baali tebanajja, yali alyanga n'ab'amawanga; naye bwe bajja, ne yeeseebulula, ne yeeyawulako olw'okutya abava mu batayirire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga abaava eri Yakobo bwe baali tebannajja, yalyanga n’Abamawanga, naye bwe bajja n’atandika okubeeyawulako ng’atya abakomole.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abantu abamu abaava ewa Yakobo bwe baali tebannajja, yalyanga n'ab'amawanga: naye bwe bajja, ne yeeyawula n'abaawukanako, ng'atya abakomole.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abamu abaava eri Yakobo, bwe baali tebannajja, Keefa yalyanga wamu n'ab'amawanga amalala. Kyokka abantu abo bwe baatuuka, ne yeeyawula ku bali, n'abaawukanako olw'okutya abo abawagira okukomolebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga olubereberye abantu nga tebannaba kujja kuva wa Yakobo, yalyanga n'ab'amawanga: naye bwe bajja, ne yeeyawula n'abaawukanako, ng'atya abakomole.