Galatians 2:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abayudaaya abalala ne bamulabirako okukuusa, ne Barunaba yennyini ne bamutwaliriza mu kukuusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayudaaya abalala bonna ne bamwegattako mu bukuusa, ekyo ne kireetera ne Balunabba okusendebwasendebwa obukuusa bwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'Abayudaaya abalala bonna abaali naye, ne bamwegattako mu bukuusa, ne Balunabba n'okuwalulwa n'awalulwa obukuusa bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'Abayudaaya abalala be yali nabo ne beegatta naye, mu bukuusa bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'Abayudaaya abalala bonna ne bakuusakuusa wamu naye; ne Balunabba n'okuwalulwa n'awalulwa obukuusa bwabwe.