Galatians 2:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nalaba nga si balambulukufu mu bikwata ku mazima g'Evangili, kwe kwatulira Kefa mu maaso ga bonna nti: “Oba ggwe Omuyudaaya oyisa ng'ab'amawanga n'otoyisa Kiyudaaya, osobola otya okuwaliriza ab'amawanga okuyisa ng'Abayudaaya?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe nalaba nga tebatambula bulungi ng’amazima g’enjiri bwe gali, ne ŋŋamba Keefa mu maaso gaabwe bonna nti, “Obanga ggwe Omuyudaaya ogoberera empisa z’Abamawanga ezitali za Kiyudaaya, owaliriza otya Abaamawanga okugobereranga empisa z’Ekiyudaaya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe nnalaba nga teberambise butereevu mu mazima g'Enjiri, ne ŋŋambira Keefa mu maaso gaabwe bonna nti, “Oba nga ggwe bw'oli Omuyudaaya ogoberera empisa z'ab'amawanga ezitali za Kiyudaaya, owaliriza otya ab'amawanga okugobereranga empisa z'Ekiyudaaya?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe nalaba nga tebagoberedde Mawulire Amalungi mu mazima, ne ŋŋamba Keefa nga tuli mu maaso gaabwe bonna, nti: “Ggwe oli Muyudaaya, naye okwata empisa z'ab'amawanga amalala ezitali za Kiyudaaya. Kale oyinza otya okuwaliriza ab'amawanga amalala okukwata empisa z'Ekiyudaaya?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe nnalaba nga tebaakwata kkubo ggolokofu mu mazima g'enjiri, ne ŋŋambira Keefa mu maaso gaabwe bonna nti Obanga ggwe bw'oli Omuyudaaya ogoberera empisa z'ab'amawanga ezitali za Kiyudaaya, owaliriza otya ab'amawanga okugobereranga empisa z'Ekiyudaaya?