Galatians 2:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
tumanyi ng'omuntu tafuuka mutuukirivu lwa kutuukiriza bikolwa bya mu Tteeka, wabula lwa kukkiriza Yezu Kristu, naffe twakkiriza Kristu Yezu, tufuuke tutyo abatuukirivu olw'okukkiriza Kristu, sso si lwa bikolwa Etteeka bye liragira; anti nga mpaawo n'omu afuuka mutuukirivu olw'okukola obukozi Etteeka bye liragira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka tukimanyi bulungi nti omuntu taweebwa butuukirivu lwa kugondera mateeka, wabula abufuna lwa kukkiriza Yesu Kristo, era naffe kyetwava tukkiriza Yesu Kristo tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okumukkiriza so si lwa kugondera mateeka. Kubanga tewali n’omu aliweebwa obutuukirivu olw’ebikolwa eby’amateeka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kyokka tukimanyi bulungi nti omuntu taweebwa butuukirivu lwa bikolwa bya mateeka wabula olw'okukkiriza Yesu Kristo, era naffe twakkiriza Kristo Yesu, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw'okukkiriza Kristo, naye si lwa bikolwa bya mateeka: kubanga olw'ebikolwa eby'amateeka tewali alina omubiri aliweebwa obutuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye tumanyi nti omuntu aba omutuukirivu lwa kukkiriza Yesu Kristo, sso si lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira. Naffe twakkiriza Yesu Kristo tulyoke tube abatuukirivu olw'okukkiriza Kristo, naye si lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, kubanga tewali n'omu ayinza kufuuka mutuukirivu olw'okutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bwe tumanyi ng'omuntu taweebwa butuukirivu lwa bikolwa bya mateeka wabula olw'okukkiriza Yesu Kristo, era naffe twakkiriza Kristo Yesu, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw'okukkiriza Kristo, naye si lwa bikolwa bya mateeka: kubanga olw'ebikolwa eby'amateeka tewali alina omubiri aliweebwa obutuukirivu.