Galatians 2:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba bwe tunoonya okufuuka abatuukirivu mu Kristu twesanga nga tukyali boonoonyi, awo nno Kristu muleesi wa kibi? N'akatono!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye oba nga bwe twanoonya okuweebwa obutuukirivu mu Kristo twasangibwa okuba aboonoonyi, kitegeeza nti Kristo muweereza wa kibi? Kikafuuwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oba nga, mu kufuba kwaffe okuweebwa obutuukirivu mu Kristo, ffe ffennyini twasangibwa okuba aboonoonyi, kale Kristo muweereza wa kibi? Nedda, n'akatono!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano bwe tufuba okuba abatuukirivu mu Kristo, ate ne tusangibwa nga naffe tuli boonoonyi, ekyo kitegeeza nti Kristo muweereza wa kibi? Nedda, tekisoboka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe twayagala okuweebwa obutuukirivu mu Kristo, oba nga twalabibwa naffe okuba n'ebibi, kale Kristo muweereza wa kibi? Kitalo.