Galatians 2:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okubeera abooluganda ab'obulimba, abaaleetebwa mu nkukutu ne batwerimbikamu okuketta balabe eddembe lye tulina mu Kristu Yezu, nga baagala okutuzza mu buddu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye olw’abooluganda ab’obulimba abaayingizibwa mu kyama okuketta eddembe lye tulina mu Kristo Yesu, balyoke batufuule abaddu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye olw'ab'oluganda ab'obulimba abaayingizibwa mu kyama, abaayingira mu kyama okuketta eddembe lyaffe lye tulina mu Kristo Yesu, okututeeka mu buddu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo abooluganda ab'obulimba abaasensera mu kyama okuketta eddembe lyaffe lye tulina mu Kristo Yesu, nga baagala okutuzza mu buddu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye olw'ab'oluganda ab'obulimba abaayingizibwa mu kyama, abaayingira mu kyama okuketta eddembe lyaffe lye tulina mu Kristo Yesu, okututeeka mu buddu: