Galatians 2:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo abaali bafaanana okusinga ekitiibwa – sifaayo oba baani, anti Katonda teyeeguya muntu – kale nno abo abaali bafaanana okusinga ekitiibwa tebalina kye bannyongerako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abo abaabalibwa ng’okuba ekintu eky’omuwendo, abataaliko bwe baali gye ndi kubanga Katonda tasosola mu bantu, nze gye ndi tebalina kye bannyongerako,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abo abatwalibwa okuba ekintu eky'omuwendo, nga bwe bali, ku nze tewali njawulo, Katonda tasosola mu bantu, abo, ŋŋamba, abali baatenderezebwa tebalina kye bannyongerako;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abaabalibwanga ng'abakulembeze oba ddala bwe bali– ekyo ku nze si nsonga kubanga Katonda tasosola mu bantu– abakulembeze abo, tebalina kye bannyongerako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abaatenderezebwa okuba abakulu (nga bwe bali kye kimu gye ndi; Katonda tasosola mu bantu) abaatenderezebwa aze tebannyongerako kintu: