Galatians 2:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye wabula, bo bwe baalaba nga nange nakwasibwa Evangili okugiyigiriza abatali batayirire, nga ne Petero bwe yali akwasiddwa Evangili olw'abatayirire,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye mu ngeri endala bwe baalaba nga nateresebwa Enjiri ey’abatali bakomole, nga Peetero bwe yateresebwa ey’abakomole,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye mu ngeri endala, bwe baalaba nga nnateresebwa Enjiri y'abo abatali bakomole, nga Peetero bwe yateresebwa ey'abakomole
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye baalaba nga nakwasibwa omulimu ogw'okutegeeza ab'amawanga amalala Amawulire Amalungi, nga Peetero bwe yakwasibwa ogw'okugategeeza Abayudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mu ngeri endala, bwe baalaba nga nnateresebwa enjiri y'abo abatali bakomole, nga Peetero ey'abakomole