Galatians 2:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
– ndaba eyakolera mu Petero mu butume bwe eri abatayirire ye yakolera ne mu nze nga ntumiddwa eri ab'amawanga, -
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oyo eyakolera mu Peetero olw’obutume bw’abakomole, ye yakolera ne mu nze ku lw’Abaamawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga oyo eyakolera Peetero olw'obutume bw'abakomole, ye yakolera ne mu nze olw'ab'amawanga;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda eyafuula Peetero okuba omutume w'Abayudaaya, era ye yafuula nange okuba omutume w'ab'amawanga amalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(kubanga eyakolera Peetero olw'obutume bw'abakomole ye yakolera nange olw'ab'amawanga);