Galatians 2:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bwe baategeera eneema gye nali mpeereddwa, Yakobo ne Kefa ne Yowanna, abaali balabika okuba empagi, ne bakwata nze ne Barunaba mu ngalo n'emikono gyabwe egya ddyo okulaga nti tuli kimu, ffe tugende mu b'amawanga, bo mu batayirire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo ne Keefa ne Yokaana abaalabikanga ng’empagi bwe baalaba ekisa ekya mpeebwa, ne batukwata mu ngalo eza ddyo nze ne Balunabba nga bassa kimu naffe nti ffe tubeere mu Bamawanga, naye bo babeere mu b’abakomole.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era bwe baategeera ekisa kye nnaweebwa, Yakobo ne Keefa ne Yokaana, abaatenderezebwa okuba empagi, ne batuwa, nze ne Balunabba, omukono ogwa ddyo ogw'okussa ekimu naffe, ffe tugende eri ab'amawanga, bo bagende eri abakomole;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Yakobo, Keefa ne Yowanne abaalowoozebwanga okuba empagi, bwe baategeera omulimu gwe yampa, ne batukwata mu ngalo, nze ne Barunaba, okulaga nti tuli bumu nabo. Ne tukkaanya: bo bagende eri Abayudaaya, ffe tugende eri ab'amawanga amalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era bwe baategeera ekisa kye nnaweebwa, Yakobo ne Keefa ne Yokaana, abaatenderezebwa okuba empagi, ne batuwa omukono ogwa ddyo ogw'okussa ekimu nze ne Balunabba, ffe tugende eri ab'amawanga, bo bagende eri abakomole;