Galatians 3:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno bonna abagendera ku bikolwa eby'Etteeka bakolimire; anti kyawandiikibwa nti: “Buli yenna atanyweza byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'Etteeka n'atabituusa, mukolimire.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abo abafugibwa ebikolwa eby’amateeka, bafugibwa kikolimo; kubanga kyawandiikibwa nti, “Buli ataagobererenga byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo ky’amateeka, akolimiddwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bonna abeesigama ku bikolwa by'amateeka, bali wansi wa kikolimo: kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli ataatuukirizenga kukola byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'amateeka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abeesigama ku kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, bakolimiddwa, kubanga kyawandiikibwa nti: “Buli ataatuukirizenga byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'Amateeka, akolimiddwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bonna abayima mu bikolwa by'amateeka, bafugibwa kikolimo: kubanga kyawandiikibwa nti Akolimiddwa buli ataabinyiikirira byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'amateeka, okubikolanga.