Galatians 3:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno Etteeka terisobola kufuula muntu mutuukirivu mu maaso ga Katonda, kubanga “Omutuukirivu aliba mulamu olw'okukkiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kimanyiddwa bulungi nti tewali n’omu Katonda gw’awa butuukirivu olw’okukuuma amateeka, kubanga abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kaakano kimanyiddwa nti tewali Katonda gwawa butuukirivu olw'okukuuma amateeka; kubanga, “ Oyo ali mu kukkiriza ye mutuukirivu, yaliba omulamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kimanyiddwa nti tewali n'omu aba mutuukirivu lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, kubanga, “Omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kimanyiddwa nga mu mateeka tewali aweebwa butuukirivu eri Katonda: kubanga nti Abatuukirivu baanabeeranga balamu lwa kukkiriza;