Galatians 3:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kristu yatununula mu kikolimo ky'Etteeka bwe yafuuka ekikolimo olw'okubeera ffe, kubanga kyawandiikibwa nti: “Buli yenna awanikibwa ku muti, mukolimire.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kristo yatununula okuva mu kikolimo ky’amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe, kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kristo yatununula okuva mu kikolimo ky'amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe: kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ffe Kristo yatununula, n'atuggya mu kikoligo ekireetebwa Amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe. Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Buli awanikibwa ku muti, akolimiddwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kristo yatununula mu kikolimo ky'amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe: kubanga kyawandiikibwa nti Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti: