Galatians 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, singa tulabira ku bibaawo bulijjo, endagaano y'omuntu bw'emala okukakasibwa, tewali muntu asobola kugisazaamu oba kugiwaayiramu birala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abooluganda njogera mu buntu; endagaano bw’eba ng’ekakasibbwa, tewabaawo agiggyawo newaakubadde agyongerako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'oluganda, njogera mu buntu: endagaano newakubadde nga ya muntu buntu bw'emala okukakasibwa, tewali agiggyawo newakubadde agyongerako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, ne mu nkola ey'abantu eya bulijjo, omuntu bw'amala okukola endagaano n'enywera, tewali n'omu akkirizibwa kugiggyawo oba okugyongerako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ab'oluganda, njogera mu buntu: endagaano newakubadde nga ya muntu buntu bw'emala okunywera tewali agiggyawo newakubadde agyongerako.