Galatians 3:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebisuubizo byasuubizibwa Yiburayimu n'ezzadde lye. Tagamba nti: “N'amazadde ge,” ng'amangi; naye mu bumu nti: “N'ezzadde lyo;” ezzadde eryo ye Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda yasuubiza Ibulayimu n’Omwana we, naye tekigamba nti n’abaana be ng’abangi, naye yayogera ku omu, oyo ye Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano ebyo ebyasuubizibwa byagambibwa Ibulayimu n'omwana we. Naye tekyogera nti, “ N'eri abaana be nga bangi,” naye eri omu, “nga ye mwana we,” oyo ye Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo ebyasuubizibwa, byasuubizibwa Aburahamu ne muzzukulu we. Ekyawandiikibwa tekigamba nti: “Ne bazzukulu be,” ng'abangi, wabula kigamba nti “Ne muzzukulu we,” ng'ali omu, ye Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyasuubizibwa byagambibwa Ibulayimu n'omuzzukulu we. Tayogera nti N'eri abazzukulu, nga bangi, naye ng'omu nti N'eri omuzzukulu wo, ye Kristo.