Galatians 3:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino nze kye ntegeeza, nti Etteeka eryajja nga wamaze okuyita emyaka ebikumi bina mu asatu teriyinza kudibya ndagaano Katonda gye yali amaze okukakasa, bye yasuubiza ne bifa busa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kye ŋŋamba kye kino: endagaano eyakakasibwa Katonda nga wayiseewo emyaka ebikumi bina mu asatu n’efuuka etteeka, teyadibya ekyo ekyasuubizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kino kye ntegeeza: amateeka, agajja nga wayiseewo emyaka bina mu asatu (430) tegaggyaawo ndagaano Katonda gye yali amaze okukakasa, okusobola okudibya ekyasuubizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kye ŋŋamba kye kino nti Amateeka agajja nga wayiseewo emyaka ebikumi bina mu asatu, tegaggyaawo ndagaano eyanywezebwa Katonda, era tegadibya ekyasuubizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kino kye njogera nti Endagaano eyasooka okunywezebwa Katonda, amateeka agajja nga wayiseewo emyaka ebikumi bina mu asatu tegagiggyaawo n'okudibya ekyasuubizibwa.