Galatians 3:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba obusika bugoba biri mu Tteeka, awo nno tebugoba kisuubizo; sso Katonda yabuwa Yiburayimu ng'agoba ebiri mu kisuubizo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kuba oba ng’obusika bwesigamye ku mateeka, buba tebukyali bwa kisuubizo; naye yabuwa Ibulayimu olw’okusuubiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale oba ng'obusika buva mu mateeka, buba tebukyali bwa kisuubizo: naye Katonda yabuwa Ibulayimu olw'okusuubiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale oba nga Katonda ky'awa kyesigama ku Mateeka, olwo kiba tekikyesigamye ku kusuubiza kwe; naye Katonda yakiwa Aburahamu kubanga yakimusuubiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba oba ng'obusika buva mu mateeka, nga tebuva nate mu kusuubiza: naye Katonda yabuwa Ibulayimu olw'okusuubiza,