Galatians 3:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Etteeka nno lyaki? Lyagattibwako olw'ebisobyo okutuusa ezzadde eryasuubizibwa ekisuubizo lwe lirijja. Lyateekebwateekebwa bamalayika nga bayita mu mutabaganya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale lwaki amateeka gaateekebwawo? Gaagattibwa ku kisuubizo olw’aboonoonyi okutuusa ezzadde eryasuubizibwa lwe lirikomawo, nga lyawulibbwa mu bamalayika olw’omukono gw’omutabaganya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale lwaki amateeka gaateekebwawo? Gassibwawo lwa kwonoona, okutuusa nga omwana gwe basuubiza ekisuubizo azze, era gaalagirwa bamalayika okuyita mu mutabaganya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Amateeka gaateekebwawo lwaki? Gaateekebwawo, okwonoona kulyoke kumanyike, era gaali ga kubeerawo okutuusa ku kujja kwa muzzukulu wa Aburahamu eyasuubizibwa. Go Amateeka gaaleetebwa bamalayika, nga gayita ku mutabaganya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale amateeka kiki? Gassibwawo lwa kwonoona okutuusa w'alijjira omuzzukulu eyasuubizibwa, gaalagirwa bamalayika mu mikono gy'omutabaganya.