Galatians 3:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale mbabuuza kino kyokka: Mwoyo mwamufuna kubanga mwatuusa ebikolwa by'omu Tteeka, nandiki kubanga mwawulira n'okukkiriza?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino kyokka kye njagala muntegeeze; mwaweebwa Mwoyo lwa bikolwa eby’amateeka, nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kino kyokka kye njagala okubabuuza: Mwaweebwa Omwoyo lwa bikolwa bya mateeka nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino kyokka kye njagala muntegeeze: mwafuna Mwoyo Mutuukirivu lwa kubanga mwatuukiriza ebyo Amateeka bwe galagira, oba lwa kuwulira na kukkiriza Amawulire Amalungi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kino kyokka kye njagala mmwe okuntegeeza nti Mwaweebwa Omwoyo lwa bikolwa bya mateeka nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza?