Galatians 3:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno Etteeka liggyawo Katonda bye yasuubiza? N'akatono. Singa wassibwawo Etteeka erisobola okuwa obulamu, ggwe wamma obutuukirivu bwandivuddenga mu Tteeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amateeka galwanagana n’ebyo Katonda bye yasuubiza? Kikafuuwe. Kubanga singa amateeka gaali galeeta obulamu, ddala ddala amateeka gandituwadde obutuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale olwo amateeka gakontana n'ebisuubizo bya Katonda? Si bwe kiri; kuba singa amateeka gaaweebwa nga ge gayinza okuleeta obulamu, ddala obutuukirivu bwandibadde mu mateeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Amateeka galwanagana n'ebyo Katonda bye yasuubiza? Nedda, tekisoboka. Singa gaateekebwawo nga ge gayinza okuleeta obulamu, olwo abantu bandibadde batuukirivu olw'okutuukiriza ebyo bye galagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale amateeka tegatabagana n'ebyasuubizibwa Katonda? Kitalo: kuba singa amateeka gaaweebwa nga ge gayinza okuleeta obulamu, ddala obutuukirivu bwandibadde mu mateeka.