Galatians 3:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso Ekiwandiiko ekitukuvu byonna kyabissa mu buyinza bwa kibi, olw'okukkiriza Yezu Kristu ekisuubizo kiryoke kibeere ky'abo abakkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ebyawandiikibwa bitegeeza nti ebintu byonna bifugibwa kibi, ekyasuubizibwa kiryoke kiweebwe abakkiriza olw’okukkiriza mu Yesu Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebyawandiikibwa biteeka ebintu byonna ku kibi, olwo ekyo ekyasuubizibwa olw'okukkiriza Kristo Yesu kiryoke kiweebwe abo abakkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ekyawandiikibwa kigamba nti ekibi kifuga byonna, ekyasuubizibwa kiryoke kiweebwe abo abakkiriza, nga kibaweebwa olw'okukkiriza Yesu Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebyawandiikibwa byabisiba byonna mu bufuge bw'ekibi, abakkiriza balyoke baweebwe ekyasuubizibwa ekiva mu kukkiriza Yesu Kristo.