Galatians 3:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno okukkiriza kwali tekunnajja, ffenna twali tussiddwa mu kkomera ly'Etteeka, nga tukuumirwa mu nkomyo okutuusa akadde okukkiriza lwe kulibikkulibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye okukkiriza nga tekunnajja, twafugibwanga mateeka, nga tusibibwa olw’okukkiriza okugenda okubikkulwa;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye okukkiriza nga tekunnaba kujja, twakuumirwanga mu bufuge bwa mateeka, nga tusibibwa olw'okukkiriza okugenda okubikkulwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okukkiriza bwe kwali tekunnajja, Amateeka gaatukuumanga nga tuli basibe, okutuusa okukkiriza lwe kwalagibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye okukkiriza nga tekunnaba kujja, twakuumirwanga mu bufuge bwa mateeka, nga tusibibwa olw'okukkiriza okugenda okubikkulwa.